Our Blog

Ababaka beeyamye okuyamba abakyala abazaala

ABABAKA ba Palamenti okuva mu mawanga ag’enjawulo batadde essira ku ngeri gye
bagenda okuyambamu bamaama abafiira mu ssanya n’abaana abafa nga bawere.

Omukozi mu kitongole kya Center for Health, Human Rights Development (CEHURD),
Muky. Noor Nakibuuka, yagambye nti Gavumenti esaanye okwongera ensimbi z’eteeka mu
buzibu bwa bamaama abafa nga bazaala ssaako okutaasa abaana abafa nga bawere.

Zino ze zimu ku nsonga ezigenda okuteekebwako essira mu kukendeeza
omuwendo gw’abakyala abafa nga bazaala n’abaana abafa wakati w’obuwere
n’emyezi ebbiri. Bino byayogeddwa mu lukiiko lw’abaamawulire olwakubiddwa e
Bukoto wiiki ewedde nga batema empenda z’okumalawo ekizibu kino ekyeyongera buli bbanga.

Source: http://www.bukedde.co.ug/news/62929-Ababaka-beeyamye-okuyamba-abakyala-abazaala.html

Tags:

Show Comments (0)

This is a unique website which will require a more modern browser to work! Please upgrade today!