ABABAKA ba Palamenti okuva mu mawanga agβenjawulo batadde essira ku ngeri gye
bagenda okuyambamu bamaama abafiira mu ssanya nβabaana abafa nga bawere.
Omukozi mu kitongole kya Center for Health, Human Rights Development (CEHURD),
Muky. Noor Nakibuuka, yagambye nti Gavumenti esaanye okwongera ensimbi zβeteeka mu
buzibu bwa bamaama abafa nga bazaala ssaako okutaasa abaana abafa nga bawere.
Zino ze zimu ku nsonga ezigenda okuteekebwako essira mu kukendeeza
omuwendo gwβabakyala abafa nga bazaala nβabaana abafa wakati wβobuwere
nβemyezi ebbiri. Bino byayogeddwa mu lukiiko lwβabaamawulire olwakubiddwa e
Bukoto wiiki ewedde nga batema empenda zβokumalawo ekizibu kino ekyeyongera buli bbanga.
Source:Β http://www.bukedde.co.ug/news/62929-Ababaka-beeyamye-okuyamba-abakyala-abazaala.html